Joel 2:26-27

26 aKale, munaabanga n’ebyokulya bingi nga bwe muneetaaganga.
Munaatenderezanga erinnya lya Mukama Katonda wammwe
abakoledde ebintu ebirungi bwe bityo.
Era abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.
27 bMulimanya nga ndi wakati mu Isirayiri,
era nga Nze, Mukama, Nze Katonda wammwe,
so tewali mulala;
n’abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.
Copyright information for LugEEEE